Abawuzi bayolesezza omutindo e South Africa.

0

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga, ekya Uganda Swimming Federation kivuddeyo ne kitendereza omutindo abawuzi Bannayuganda gwe baayolesezza mu ggwanga lya South Africa gye baawangulidde emidaali 17.

Abawuzi 11 okuva mu kkiraabu ya Gators be babadde mu South Africa ng’eno bavuganyizza mu mpaka z’okuwuga eziri ku ddaala ery’okusatu mu ggwanga lya South Africa eza South Africa Level 3 Swimming Championship . 

Mu mpaka zino, abawuzi  bana ku bo baawangulidde Uganda emidaali  nga ku bano kuliko;  Tara Kisawuzi nga eyawangudde emidaali gya zzaabu mukaaga, Kirabo Namutebi eyawangudde ena, Usadadiya yawangudde ena nga kuliko egya zzaabu ena ne ffeeza ebiri  nga  Paloma Kirabo yawangudde ogwa ffeeza gumu. 

Omutendesi wa kkiraabu ya Gators, Muzafuru Muwanguzi ategeezezza nti ekigendererwa ky’okutwala abawuzi mu mpaka zino kwabadde kuwa mukisa bawuzi kuwugirako ku bidiba eby’omulembe ebiri ku ddaala ly’ensi yonna  wamu n’okwongera okukendeeza ku budde bwe bawugiramu.

Kirabo Namutebi nga omu ku bawuzi abaavuganyizza yagambye nti yafunye okuvuganya okwa maanyi era mugumu nti ne bawuzi banne baafunyeemu nnyo mu mpaka zino. Empaka ezaatandika ku nkomerero y’omwezi oguwedde ogwa March zaakomekerezeddwa ku Mmande ya wiiki ewedde nga April 3, 2023.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *