Uganda etandikidde mu ggiya okweddiza engule ya ddigi mu za FIM.

0

Uganda ekubye bannakenya obuswanyu bw’ewangudde emitendera gyonna 9 mu mpaka za ddigi ez’omu buvanjuba n’amasekkati ga Afrika ezimanyiddwa nga ‘FIM Central Africa Motocross Championship 2023’.

Empaka zino zaabadde za mulundi gusooka ku kalenda y’engule eno, zaakulungudde ennaku bbiri nga ziyiribira ku kisaawe kya Extreme Adventure Park e Busiika nga zaakomekkerezeddwa eggulo ku Paasika.

Oluvannyuma lwa bannayuganda 9 buli omu okuwangula omutendera ogwetongodde, Uganda yakung’anyizza omugatte gwa bubonero 1,625 ate Kenya 497 nga kati balindiridde kudding’ana mu laawundi esembayo mu December mu kibuga Nairobi ekya Kenya.

Hellena Birungi yawangudde omutendera gwa MX 50 (Junior) ku bubonero 59, MX 50 (Senior) – Jude Kyle Musede (60), MX 85 – Gift Ssebuguzi (60), MX 1 – Fatuh Kiggundu (60), MX 2 – Wazir Ali Omar (57), MX-125 – Milton Apollo Obote (60), MX 65 – Miguel Katende (60), MX Vets – Geoffrey Kayiira (57), MX Masters – Jimmy Akena (60).

Ddigi 94 ze zeetabye mu z’omulundi guno okuva mu mawanga okuli; Uganda abategesi ate abalina engule y’omwaka oguwedde ne Kenya bwe bavuganya ku ngule y’omwaka guno, kw’ossa Tanzania ne South Africa abazze ng’abagenyi mu mpaka zino.

Oluvannyuma lwa ddigi abavuzi b’emmotoka z’empaka beeriisizza enfuufu mu zaakafubutuko ezaawanguddwa Duncan Mubiru amanyiddwa nga Kikankane eyavugidde eddakiika 0:07:55:50 n’addirirwa Ronald Ssebuguzi (0:08:08:50).

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *