Aba badminton nabo baakuzizza amazaalibwa ga Kabaka.

0

Abazannyi 65 be beetabye mu mpaka z’omuzannyo gwa badminton (Ttena ey’ekyoya) okukuza amazaalibwa ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi age 68 ng’ensitaano ebadde ku kizannyiro kya CFK Badminton Academy ku Mawanda Road e Mulago.

Zino zibadde za mulundi gwakusatu ng’aba CFK beegatta ku kibiina ekiddukanya omuzannyo guno ekya Uganda Badminton Association (UBA).

Bazannyidde ennaku bbiri mu mitendera gy’emyaka 10-19 wamu n’abakulu ng’eyaziwangula omwaka oguwedde Alyaan Mawani amezze Ninaad Modi ku myaka 19 wabula n’awangulwa Augustine Owinyi mu mutendera gwa ‘Open’ ogw’abakulu ku bugoba 2-1.

Ate mu bakazi ssekinnoomu, Asumpta Owomugisha omuyizi mu yunivasite ya Makerere aziwangudde bw’akubye Sadat Razavipour Verona ku bugoba 2-1.

Photo credit :bukedde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *