Kawagga n’omusudan balinze ffirimbi okweriga.

0

Munnayuganda omukubi w’ensambaggere Kawagga Bamweyana alinze firimbi yokka okwang’anga Omusudan Richard Oulanyah.

Ababiri badding’ana ku Lw’okutaano luno nga April 7, 2023 mu lulwana olusubiirwa okubaako n’obugombe.

Kawagga eyakazibwako erya ‘Omunuuzi wa Bunwe’ alaalise nga bw’agenda okukuba Omusudan amulaawe n’okumulaawa nga Ente.

Baakweriga lawundi 5 ku Gladiator Paradise Gardens e Masanafu mu Kampala mu nnwana eya K1 Style ey’okukozesa tteke, ebikonde n’amaviivi mu buzito bwa ‘Light’ kiro 60.

Kawaga yasinze kukyaka olw’ebigambo by’awanda okukira Moses Golola era abamu baamusonzeeko okumuddira mu bigere.

Kuno kw’agatta akakuku ke ne Moses Musisi ‘Breaker Breaker’ bwe batalima kambugu akongedde okukutula mu bawagizi baabwe.

Luno lulwana lwa Kawagga lwakuna bukya atandiika kuzannya nsambaggere eza pulofeesono mu 2021 kw’awangudde lumu n’okulemagana bbiri.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *