Okulonda mubikonde by’ensimbi kwongezzedwayo.

0

UPBC (Uganda Professional Boxing Commission) akakiiko akafuga ebikonde eby’ensimbi mu ggwanga kongezzaayo okulonda kwako.

Okulonda kubadde kwakubaawo mwezi guno nga April 8 wabula kwongezeddwaayo nga kati kwakubaawo nga May 6, 2023.

Maureen Mulangira ssaabawandiisi wa ABU ekibiina ekitwala ebikonde mu Afirika ng’ono era ye muwanika wa UPBC ategeezezza nti bongezzaayo okulonda kibayambe okusunsula bammemba abalina okukwetabamu kw’ossa okutambulira mu ssemateeka wa kakiiko.

Agasseeko nti abamu ku bammemba abaggyayo empapula okuli Pulezidenti Salim Uhuru, Ssaabawandiisi Jackson Mugwanya tebali mu ggwanga olw’emirimu gya Gavumenti emitongole gye bagenzeeko.

UPBC yasemba okutegeka okulonda mu 2018 Salim Uhuru bwe yawangula akalulu nga tavuganyiziddwa. Uhuru ng’ono era ye mmeeya wa Kampala Central Division yaddira Bbosa Kiyingi mu bigere eyali amaze emyaka 10 ng’akulembera UPBC.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *