Abazannyi bana batanziddwa n’okukaligibwa mu liigi y’oku ntikko- FUBA.

0

Ekibiina ekifuga omuzannyo gwa basketball mu ggwanga ekya Federation of Uganda Basketball Association (FUBA), kikalize n’okutanza abazannyi ba liigi y’oku ntikko 4 lwa kusiwuuka mpisa mu nsiike eziyise.

Ferdinand Odama owa UPDF Tomahawks yasindika Titus Lual owa City Oilers mu bugenderevu ng’amuva emabega bwe yali abuse mu bbanga okuteeba omupiira. Lual yawanuka waggulu n’agwa mu ngeri embi ennyo eyali esobola okumukutula eggumba n’ataddamu kuzannya basketball.

City Oilers yawangula ensiike eno (78-53) nga April 2, 2023 mu MTN Arena wabula Odama awereddwa obutazannya okumala ensiike bbiri n’okusasula engassi ya mitwalo 750, 000.

David Opolot owa Tomahawks yalwana ne Martin Ouma Buluma owa KCCA, ttiimu zombi bwe zaali zisisinkanye nga March 29, 2023. KCCA yawangula (62-58) wabula Opoloti eyatandika olutalo awereddwa ensiike ssatu nga tazannya n’okusasula engassi ya mitwalo 750,000.

Ate Buluma gwe baakuba n’agezaako okuddiza Opolot, awereddwa ensiike emu yokka gye bagenda okuzannya ne Kampala Rockets ku Lwomukaaga lwa wiiki eno (April 8, 2023) n’okusasula engassi ya mitwalo 750,000.

Paul Odongo kapiteeni wa Nam Blazers ye muzannyi omulala eyawereddwa ensiike bbiri oluvannyuma lw’okwemulugunya ku mutindo gwa baddiifiri abaali mu mitambo nga Nam Blazers ekubwa UCU Canons (87-77).

Ku nsiike bbiri z’agenda okutuula nga tazannya wakwongerako okusasula engassi ya mitwalo 750.000.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *