Nakivubo  wakuba wa nkizo mu mpaka z’ebikonde bya Africa Boxing Championship

0

Ekibinna ekitwala ebikonde mu Uganda (UBF) kiwaddeyo ekisaawe ky’e Nakivubo mu “Confederation Of Africa Boxing Association (AFBC) abatwala ebikonde mu Afrika nga ekifo omunaayindira empaka za Africa Boxing Championship.

 Pulezidenti wa UBF, Moses Muhangi ye yategeezezza bino ng’aggulawo jjiimu ku kisaawe ky’e Nakivubo (Ham Fitness And Boxing Gym). Yagambye nti baasaba okutegeka empaka zino era obudde bwonna basuubira ABF (ekya Afrika) okubaddamu kuba ekisaawe ekiri ku mutindo gw’ensi yonna baakibawadde.
Yagasseeko nti bulijjo bali mu kaweefube wa kumatiza Ham era nti bakkaanyizza. “Nneebaza Ham okutuzimbira ekisaawe amakula. Ffe nga abeebikonde tugenda kukigganyulwamu nnyo olwa jjiimu ebbiri ezikiteereddwaako,” bwe yakkaatirizza
Ham yategeezezza nti mwetegefu okukolagana n’abeebikonde n’abalala kubanga ekisaawe yakizimbidde Bannayuganda. “Ebikonde tobyawula ku Nakivubo kuba ebbanga lyonna bibadde bitegekebwa wano. Tuli beetegekfu okukwatagana na buli muntu,” Ham bwe yategeezezza.
Uganda yasemba okutegeka empaka za Africa Boxing Championships mu 1983

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *