Ferguson ne Wenger bayingidde mu premier league hall of fame.

0

Eyaliko omutendesi wa Manchester United Sir Alex Ferguson, n’eyaliko omutendesi wa Arsenal Arsene Wenger bafuuse abatendesi abasoose okutekebwa mu kisenge ekya Premier League Hall of Fame.

Ekisenge kino League y’e Bungereza ey’omupiira eya Premier League webateeka ebifaananyi by’abantu abakoze ebyafaayo mu okuva league eno lweyatandika mu mwaka gwa 1992.

Hall of fame yatongozebwa mu mwaka gwa 2021 era yakatekebwamu ebifaananyi by’abantu 16.

Kuliko David Beckham, Dennis Bergkamp, Eric Cantona, Thierry Henry, Roy Keane, Frank Lampard, Steven Gerrard, Alan Shearer, Sergio Aguero, Didier Drogba, Vincent Kompany, Wayne Rooney, Peter Schmeichel, Paul Scholes, Patrick Vieira ne Ian Wright

Ferguson ne Wenger bawezezza omuwendo gw’abantu 18 abalina ebifaananyi byabwe mu Hall of Fame.

Ferguson wa myaka 81 ayogerwako nti ye mutendesi asinga mu byafaayo bya league league kubanga mu myaka 27 gyeyamala ng’omutendesi wa Manchester United okuva 1986 okutuuka 2013, yawanguliramu ebikopo bya league 13.

Era Furguson yayamba Man U okuwangula ekikopo kyayo ekya league ekyasooka mu myaka 26 gyeyamala nga tewangula.

Ferguson era ye mutendesi yekka eyali awangudde ebikopo bya league 3 emirundi essatu egy’omuddiringanwa era kino yakikola emirundi ebiri.

Mu myaka 27 gyeyamala ng’omutendesi wa Manchester United yawangula emipiira gya league 528 ku mipiira 810 gyeyatendeka.

Yalondebwa ng’omutendesi wa season emirundi 11 ate nawangula engule y’omutendesi w’omwezi emirundi 27.

Arsene Wenger yatendeka Arsenal okumala emyaka 22, n’agiwangulira ebikopo bya Premier league bisatu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *