Uganda Cranes  yakubye Tanzania 1-0.

0

Amawanga agakakasizza ebifo byago mu mpaka za Africa Cup of Nations 2024, kuliko abategesi aba Ivory Coast, Morocco, Algeria, Tunisia, Burkina Faso ne Senegal.

Senegal banantameggwa b’empaka ezasembayo mu 2021 ezaali e Cameroon, okuyitawo kidiridde okulumba Mozambique omwayo n’egikubirayo goolo 1-0, nga omugatte egikubye goolo 7-1 kuba omupiira ogwasoose yaguwangudde goolo 6-1 mu kibuga Dakar.

Senegal esigazayo emipiira 2, ekulembedde ekibinja L n’obubonero 12 ate nga Mozambique eri mu kifo eky’okubiri erina obubonero 4 bwokka.

Ate yo Uganda Cranes oluvannyuma lw’okulumba Tanzania omwayo mu kisaawe kya Benjamin Mkapa n’egikubirayo goolo 1-0 eyatebeddwa Rogers Mato, yataangaziza emikisa gyayo egy’okukiika, wabula era olugendo lukyali luwanvu.

Uganda Cranes kati yakusatu mu kibinja F n’obubonero 4 era nga basibaganye ne Tanzania eri mu kifo eky’okubiri nayo erina obubonero 4.

Algeria yayiseemu mu kibinja nga ekulembedde nobubonero 12 ate nga Niger esembye nobubonero 2.

Buli ttiimu mu kibinja kino esigazayo emipiira 2, era Uganda Cranes yakukomawo mu kisaawe mu mwezi ogw’omukaaga okuzannya ne Algeria n’oluvanyuma esembyeyo Niger.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *