SC Villa ekomawo mu nsiike enkya leero ng’eyagala kumalira busungu bwayo bwonna ku BUL ebadde egifudde akagoma sizoni ebiri emabega. 

Guno gwe mupiira gwa Villa ogusemba mu Lira gy’ebadde ekyaliza emipiira gyayo olw’ekibonerezo kye yaweebwa FUFA oluvannyuma lw’abawagizi baayo okusiiwuuka empisa. 

Villa eyingira ensiike eno ng’eyagala kwesasuza BUL olw’okubawandula mu kikopo kya Uganda Cup wiiki ewedde bwe baabawangulira ku ggoolo 1-0 e Njeru. 

Mu mipiira etaano egisembyeyo wakati wa ttiimu zino, SC Villa tekubye ku BUL ng’ewangudde emipiira esatu ssaako n’okukola amaliri ga mirundi ebiri. 

Jackson Magera omutendesi wa Villa yategeezezza nti bagenda kuggyayo obukodyo bwonna okusobola okumegga BUL ku mupiira oguliko obugombe. 

BUL mu kaseera kano etendekebwa Simeon Masaba naye ayagala okukakasa bakama be nti omulimu ajja kugusobola. 

SC Villa eri mu kifo kyakubiri n’obubonero 31 ng’eyagala kussa kazito ku KCCA ekulembedde ttebo n’obubonero 35. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *