Ekisaawe ky’e Makerere kyengeredde okuggwa – Peninnah Kabenge.

0

Ekisaawe ekibike ekya Makerere Arena nga kino kitandise okuwa essuubi nti oboolyawo mu bbanga ttono kijja kuba kiwedde.

Omulimu gw’okkuzimba ekisaawe kino gwatandika mu mwaka 2018, Uganda bwe yali yeetegekera okukyaza empaka z’okubaka eza yunivasite ez’ensi yonna eza World University Netball Championships omwaka gwe gumu.

https://googleads.g.doubleclick.net/pagead/ads?client=ca-pub-9Wabula ng’empaka zino ziwedde, omulimu gwatandika okutambula akasoobo kati emyaka etaano miramba. Kino kyawaliriza abakulira ettendekero lya Makerere okukyusa abazimbi okuva ku UPDF gye baali bawadde kontulakiti.

Akulira emizannyo e Makerere, Peninnah Kabenge yategeezezza nti wadde baali basuubira nti ekisaawe kyakuggwa mu mwezi gwa June, okusinziira ku ngeri ebintu gye bitambulamu kyandiggwa mu May.

“Ebintu ebisinga biwedde ku kisaawe kino nga ne langi tugenda kuba tuzzaako eyookubiri, awazannyirwa waawadde ng’ekiwempe kye kibulako. Ekisaawe kino kyakumalawo ebbula ly’ebisaawe mu ggwanga,” Kabenge bwe yagambye.

Singa ekisaawe kino kinaaba kiwedde, kisuubirwa nti ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation mwe kigenda okukuzannyira emipiira egy’omukwano nga She Cranes yeetegekera empaka za Netball World Cup wamu n’okukyalizaamu empaka z’okubaka eziri ku ddaala lya Afrika eza Africa Netball Championships ez’okubeera wano mu ggwanga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *