Masaba asiisinkanye Isabirye eyali omutendessi wa BUL.

0

BUL FC ekakasizza Simeon Masaba okudda mu bigere bya Alex Isabirye Musongola ng’omutendesi omujjuvu okutuusa nga sizoni eno eweddeko.

Isabirye, yasuddewo omulimu guno ku Lwomukaaga lwa wiiki ne yeegatta ku Vipers SC ku ndagaano ya myezi mukaaga ng’adda mu bigere bya Bianchi Beto eyakwatiddwa ku nkoona olw’omutindo ogw’ekibogwe.

Okusinziira ku Joseph Mutaka akulira ebyemirimu mu BUL FC, oluvannyuma lwa Isabirye okubaabulira mu kiseera we babadde basing okumwetaagira, basazeewo okumusikiza Masaba abadde omumyuka we.

“Isabirye yatukoze bubi kuba tubadde tukyamwetaaga. Mu kiseera kino tetusobola kuteekawo mbalirira ya mutendesi mupya, Masaba akyalina endagaano, yabeerako ku URA FC, Onduparaka mu liigi y’oku ntikko, tukkiriza nti ajja kutuwanirira nga bwe twetereeza,” Mutaka bwe yategeezezza.

Masaba waakumyukibwa Baker Kasule, James Magala, Daniel Kabale, Noah Kasule Babadi ne Patrick Asiku.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *