Nasser ne Mangat bagenze mu za ARC.

0

Yassin Nasser eyaakamala okuwangula empaka za Mbarara City Rally ezagguddewo kkalenda y’emmotoka z’empaka ku ngule y’eggwanga (NRC), abitaddemu engatto okwetaba mu za ARC Equator rally eziri mu kibuga Nairobi ekya Kenya.

Eza ARC Equator Rally ziri ku kalenda ya Afrika nga zaakuvugibwa wiikendi ejja wakati wa March 17-19, 2023.

Nasser alina obumanyirivu mu mpaka zino okuva mu 2021 bwe yawangula engule y’omutendera ogwokubiri mu mpaka za Afrika ogwa ARC2.

Okwetaba mu mpaka zino, Nasser ali mu kaweefube waakwongera kuyiga mmotoka ye empya ekika kya Ford Fiesta R5 MK2 gye yaakatandika okuvuga, yasooka kugiwanguza ezaakafubutuko ku ntandikwa y’omwaka guno ezaali e Busiika kw’ossa ez’e Mbarara.

Mu ngeri y’emu Jas Mangat nga eyaakamala okuwangula engule y’omutendera ogwokubiri mu mpaka za Afrika ogwa ARC2 omwaka oguwedde mu mmotoka ye ekika kya Mitsubish Evo X naye yeegasse ku Nasser okwetaba mu za Eza ARC Equator rally.

Charles Muhangi ye munnayuganda yekka eyali awanguddeko ku ngule ya Afrika ey’omuzannyo guno mu 2018, Nasser ne Mangat batandika ku lugendo lwabwe okulaba nga nabo bateekawo ekyafaayo ku lukalu lwa Afrika.

“Tugenze kulwanirira n’okutunda eggwanga lyaffe mu mpaka zino, omuzannyo guno gutwala obuwanana bwa ssente naye twewaddeyo nga saddaaka okuwanika bendera ya Uganda,” Nasser bwe yategeezezza.

Nasser ne Mangat baasiibuddwa mu butongole ku ofiisi z’akakiiko k’ebyemizannyo (NCS) era FMU ekibiina ekifuga omuzannyo mu ggwanga ne kibawaayo litta 200 ez’amafuta, ne ddoola 400 buli omu okusasulira layisensi okwetaba mu mpaka zino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *