Ttiimu ya ttena w’oku mmeeza etuuse mu ggwanga lya Djibouti.

0

Ttiimu ya Uganda eya ttena ow’oku mmeeza etuuse mu ggwanga lya Djibouti okwetaba mu mpaka za East and Central Africa ezigenda okuzannyibwa wakati wa March 10-12.

Ttiimu egendeddemu abazannyi mukaaga okuli abakazi basatu n’abasajja basatu nga yalondeddwa mu mpaka e’zokukubagana buli omu ezeetabiddwaamu abasajja 11 n’abakazi 11 ku Ssande nga March 5 ku ssomero lya Buganda Road.

Pulezidenti wa Uganda Table Tennis Association (UTTA), Robert Jagwe era nga y’akulira ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno mu ligyoni eya Eastern and Central Africa Table Tennis Federation y’akulembedde ttiimu ya Uganda okugenda mu mpaka zino ezigenda okusinziirwako okwetaba mu ndala eziri ku mutendera gwa Afrika n’ensi yonna.

Amawanga 14 ge gagenda okuvuganya era ng’ageetabyemu gokka ge gajja okukkirizibwa okwetaba mu mpaka z’omuzannyo guno endala okuli; Africa Senior Championships, World Table Tennis Championships, Olympic Games eza Paris 2024 ne All- Africa Games mu Ghana (zino zaayongezeddwaayo okuva mu August 2023 zizannyibwe mu March 2024.

“Tuli basanyufu eri NCS ne UOC okutuwa obuyambi bwa ssente n’ebirala okusobozesa ttiimu okugenda okuvuganya,” Jjagwe bw’atageeza nga ttiimu tennasitula.

Agambye nti asuubidde okudda n’obuwanguzi wadde nga ttimu tetambudde na mutendesi olw’ebbula lya ssente.

Abazannyi abali ku ttiimu ye kapiteeni Achuma Benjamin ng’asoma mu Ndejje University, Samuel Ankunda Mwesigwa (Kibuli SS) ne Imran Luwooza (Mbogo College) mu basajja.

Abakazi kuliko; Jemimah Nakawala ne Parvin Nangonzi aba Kibuli SS ne Shanitah Namaala owa Mbogo High School.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *