Kiplimo asiimidwa olw’okuwangula omudaali gwa zaabu mu misinde gy’ensi yonna.

0

Omuddusi w’embiro empanvu, Jacob Kiplimo alondeddwa bannamawulire abasaka ag’emizannyo mu kibiina kya Uganda Sports Press Association (USPA) ku buzannyi bw’omwezi gwa February. Bamusiimye olw’okuwangula omudaali gwa zaabu mu misinde gy’ensi yonna egy’okwetooloola ebyalo egyabadde mu ggwanga lya Australia.

Ono alondeddwa nga tavuganyiziddwa. Kiplimo yakoma okulondebwa ku kitiibwa kino bwe yawangula omudaali gwa zaabu mu misinde egya mimta 5,000 mu mizannyo gya Commonwealth e Birmingham mu August 2022.

Abalala abaasiimiddwa olw’okukola obulungi mu February ye muzannyi wa badminton (ttena y’ekyoya), Fadilah Shamika eyawangudde omudaali gwa zaabu mu mpaka za Afrika ezaabadde mu South Afrika.

Ttiimu ya basketball ey’abakazi eyakutte ekyokubiri mu mpaka za East and Central Africa ezaabadde mu Kampala wamu n’abazannyi ba ttiimu y’abali wansi w’emyaka 20, Rogers Mugisha ne Rogers Torich nabo baasiimiddwa.

Aba USPA era balonze abawanguzi abasoose ab’emitendera emiggya egyassibwawo okusiima bannabyamizannyo abakoze obulungi okuli abakyali abaggya n’abakulembeze abasinze okukola obulungi mu buli mwezi.

 Baalonze musaayimuto azannya ttena y’ekyoya, Eric Ofuyuru (14) ku kirabo ky’omuzannyi asuumuuse ne balonda n’omutendesi wa ttiimu y’eggwanga eba basketball ey’abakazi Nicholas Natuhereza ku mukulembeze anywedde mu banne akendo.

Mu kiseera kye kimu, bannamawulire basomeseddwa ku mitendera n’amateeka amaggya agakwata ku kuweereza emizannyo agakyali mu Palamenti.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *