Mulekele awo okuzannyisa ekyejo-David Mutono.

0

Omutendesi wa Kyetume FC eya Big League, David Mutono Katono akangulidde abazannyi ddoboozi n’abalabula obutasumagira nga bakyazizza Police awaka e Nakisunga. Kyetume erwana kwesogga bifo ebitaano ebisooka era Mutono agamba nti kino kisoboka singa abazannyi be bagendera ku biragiro bye.

Kyetume yatandika okuzannya sizoni eno nga ttiimu endala zizannyeeko emipiira ebiri buli emu oluvannyuma lwa FUFA okusooka okugikaliga olw’obutatuukiriza bisaanyizo.

Okuva lwe bakkirizibwa okuvuganya mu liigi eno sizoni eno, beerwanyeeko ne bawangula emipiira 7, amaliri ga mirundi 4 ate bakubiddwa 8. Bali mu kifo kyamusanvu n’obubonero 25. Emipiira 8 gye bakubiddwa gye gisinze okutabula omutendesi waabwe n’asaba mu gisigaddeyo beewale okuddamu okukola ensobi.

Leero Lwakuna baagala kwesasuza Police FC eyabakuba (1-0) mu nsiike eyasooka e Kavumba. Ekibawadde amaanyi kya kuba nti awaka balina ffoomu ennungi mu kitundu ekyokubiri nga mu mipiira ebiri gye bakyazizza, gyombi bagiwangudde. Baakubiddewo Kataka FC (1-0) ne Calvery (3-1).

“Kati tetulina kuddiriza muliro, buli mupiira tugukwate nga fayinolo, twagala kusembera mu bifo eby’oku mwanjo,” Mutono Katono bwe yategeezezza.

Wabula ne Angelo Lonyesi atendeka Police naye eyagala wiini okuteeka akazito ku Kitara FC ne NEC FC abakulembedde liigi.

Kitara ekulembedde n’enjawulo ya ggoolo 11 z’esinga NEC FC mu kyokubiri bwe benkanya obubonero 37, ne Police FC mu kyokusatu balina (37) ate Mbarara City mu kyokuna (36) n’abalala.

Esigadde emipiira 11 gyokka liigi ekomekkerezebwe, ttiimu essatu ezikulembera ziyitawo butereevu okwesogga ‘super’ sizoni ejja ate 4 ezisemba wansi zisalwako okuddayo mu ligyoni.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *