Micho akomezzaawo omukwassi wa goolo Salim Jamal.

0

Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga Micho Sredojevic ayungudde ttiimu y’abazannyi 30 nga yeetegekera empaka z’okusunsula abalyetaba mu mpaka za AFCON. 

Uganda yeetegekera Tanzania mu luzannya olusooka n’olwokudding’ana mu mwezi guno mu mipiira egya vvaawompitewo kuba bombi beetaaga buwanguzi bwokka okutangaaza emikisa gyabwe ogy’okuzannya mu mpaka za AFCON. 

Mu bazannyi 30 abaayitiddwa kuliko ne ggoolokipa Salim Jamal abadde aludde okuyitibwa ku ttiimu eno. Jamal ayolesezza omutindo ogw’ejawulo mu kiraabu ye eya Richards Bay ey’e South Afrika nga yaakamala emipiira 11 nga teteebeddwaamu. Uganda yaakukyaliza emipiira gyayo mu Misiri mu kisaawe kya Suez Canal Authority Stadium. 

Abazannyi abaguzannyira awaka baakusooka okuzannya omupiira gwa Kitara wiiki ejja ku Lwokutaano e Bundibugyo nga beetegekera ttiimu eno. 

Ttiimu yaakuyingira enkambi ya Cranes Paradise Hotel e Kisasi ku Lwokusatu wiiki ejja olwo ku Lwokutaano boolekere e Bundibugyo. 

Wabula abazannyi abazannya okw’ensimbi bakwegatta ku ttiimu e Misiri. 

Abazannyi abaayitiddwa kuliko; Jamal Salim Magoola, Alionzi Nafian, Charles Lukwago, Joel Mutakubwa. Abazibizi; Gavin Kizito, James Begisa, Aziz Kayondo, Derrick Ndahiro, Livingstone Mulondo, Geoffrey Wasswa, Timothy Awany, Halid Lwalilwa, Kenneth Ssemakula ne Rogers Torach. 

Abawuwuutanyi;, Siraje Sentamu, Khalid Aucho, Bobosi Byaruhanga, Steven Sserwadda, Ismail Mugulusi, Allan Okello ne Farouk Miya ate abateebi, Emmanuel Okwi, Rogers Mato, Joseph Ochaya, Travis Mutyaba, Steven Mukwala, Fahad Bayo, Richard Basangwa, Sadat Anaku ne Rogers Mugisha. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *