Abaddigi basibidde mu ddwaaliro lwa bigwo.

0

Ekisaawe kya ddigi ekipya e Kaliisizo mu disitulikiti y’e Kyotera kigoyezza abavuzi ne beekuba ebigwo mu mpaka ez’omulundi ogwokubiri eza ‘Mountain Dew Motocross Championship’ ku kalenda y’omwaka guno.

Eggulo ddigi 80 zeeriisizza enfuufu ku kisaawe kino nga buli omu alwana okukung’aanya obubonero obumukuumira mu bifo eby’oku mwanjo mu mitendera egy’enjawulo.

Wabula olw’ekisaawe okubeera nga kipya, abavuzi abasinga baasanze akaseera akazibu okubuusa ddigi zaabwe era abasinga obwedda beevulungula bwe bayimuka era abamu baawanduse.

Hellena Birungi yawangudde MX50 Pewee egy’awamu n’obubonero 50 ate ne yeetikka n’omutendera gwa bakazi ku bubonero 60.

Jude Kyle Musedde ye yawangudde omutendera gwa MX 50 senior n’obubonero 60 ate Jamaira Makumbi yeetisse omutendera gwa bakazi ku bubonero 60.

Jonathan Katende ye kyampiyoni w’omutendera gwa MX65 n’obubonero 55 ate Rahuma Nakacwa Kimera ye yeetisse abakazi MX65 ku bubonero 60.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *