Yiino ensonga lwaki liigi ya yunivasite yayongezedwayo.

0

Mu kaweefube w’okulaba nga liigi ya yunivasite eyongera okufuna abavujjirizi n’okutegekebwa mu ngeri eweesa ekitiibwa, ensiike eziggulawo sizoni omwaka guno zongezeddwaayo.

Okuva 2012, liigi eno we yatandikira, Nile Special ne Crown Beverages abakola Soda wa Pepsi be babadde bassaamu ssente, wakati wa 2015 ne 2017 MoneyGram yalinamu omukono mu buvujjirizi wabula endagaano yaabwe ne batagizza buggya.

Okusinziira ku nsonda ezeesigika, sizoni eno Nile Special teyazizza buggya ndagaano yaayo okuvujjirira liigi eno ekiwalirizza abategesi okwongezaayo nga bwe banoonya siponsa omulala ayamba ku Pepsi.

Sizoni empya eya Pepsi University Football League ebadde esuubirwa okuggyibwako akawuuwo leero (March 9, 2023) nga Uganda Martyrs University abalina ekikopo kya sizoni ewedde bakyaza Bugema University ku kisaawe e Nkozi.

Wabula kino tekisobose nga kati abategesi aba Association of Uganda University Sports (AUUS) n’akakiiko ka University Football League (UFL) baakulangirira olunaku olutuufu liigi lw’eneetandika omwaka guno.

Yunivasite 24 okuli; Victoria University, Busitema, Kabaale, MUBS, Makerere, Nkozi, KIU, Kyambogo, SLAU, Kampala University, Kumi, MUST, UCU, YMCA, Nkumba, Unik, Bishop Stuart, IUIU, ISBAT, Bugema, Ndejje, Muni, Gulu ne IUEA ze zaakakasiddwa okwetaba mu za sizoni eno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *