KCCA yesuunze kuzanya mu liigi ya kubaka.

0

Oluvannyuma lw’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation okuvaayo ne kirangirira nga liigi y’omuzannyo gw’okubaka eya National Netball Super League bw’egenda okuddamu ku Lwokusatu lwa wiiki ejja nga March 15,  kkiraabu ya KCCA evuddeyo n’erangirira nga bw’etavanga ku mulamwa gwa kutwala kikopo sizoni eno.

Omutendesi wa KCCA, Fred Mugerwa ategeezezza nti bukyanga liigi eyimirizibwa, bo tebayimiriza mu kutendekebwa kwabwe kuba  ekigendererwa kyabwe kyakusitukira mu kipo kya sizoni eno, 2022/2023.

KCCA ye kkiraabu yokka etannakubwayo mupiira sizoni eno era emikisa gyayo okuwangula ekikopo giri waggulu bw’ogeragaeranya ne kkiraabu bwe bali ku mbiranye abazze bakubwamu emipiira.

“Kye mmanyi buli kkiraabu yonna ebadde nga etendekebwa era bonna bajja baagala kutusuuza bubonero. Amaanyi nyongedde okugateeka mu luziba oluteebi n’oluzibizi okulaba nga tetukubwamu ggoolo nnyingi. Omulamwa omukulu omwaka guno gwakuwangula kikopo,” Mugerwa bwe yategeezezza.

Ssinga KCCA ewangula ekikopo kino, kijja kuba nga kye kikopo kya KCCA ekya liigi ekisookedde ddala mu byafaayo ng’ejja kuba ekomezza ejjoogo lya NIC ery’okuwangula ekikopo kino ebbanga eddene.

2C550&vis=1&rsz=%7C%7Cs%7C&abl=NS&fu=128&bc=31&ifi=14&uci=a!e&btvi=1&fsb=1&xpc=VkbsSZuQHf&p=https%3A//www.bukedde.co.ug&dtd=53577 Prisons y’ekulembedde liigi eno n’obubonero 24 mu mipiira 13 ng’ebwenkanya ne  KCCA abali mu kyokubiri n’obubonero 24 mu mipiira 12. NIC eri mu kyakusatu n’obubonero 22.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *