Pulezidenti  w’okubaka akubirizza abakyala obuteyooma.

0

Pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation Sarah Babirye Kityo avuddeyo n’akubiriza abakyala obutenyooma bwe kituuka ku kwenyigira mu bukulembeze bw’omuzannyo gw’okubaka wamu n’emizannyo gyonna okutwalira awamu.

Babirye  okukatiriza kino abadde awayaamu ne Bukedde okwongera okuttaanya ku biki ebiviirako abakyala okwesamba obuyinza mu muzannyo gw’okubaka naddala okutendeka  kwosa n’okukommoota firimbi

Wadde  nga ekibiina ky’okubaka kikulemberwa mukyala Sarah Babirye Kityo, kyewunyisa okuba nga  abatendesi  wamu nabakomonsi ba firimbi  abasinga mu muzannyo guno basajja.

“ Abakyala naddala abazannyi baffe balina okumanya nti n’okubeera ku ttiimu y’eggwanga bateekwa kukikolerera  era tewaba muntu yenna abalowozesa nti abayamba buyambi okubeera ku ttiimu y’eggwanga . Nabwekityo ffe tuli beetegefu okuyambako abakyala naye nabo bateekemu amanyi mu ki kyebaagala,” Kityo bweyatangaziza

Ku kiraabu 11 eziri mu liigi yeggwanga eyababinywera eya Uganda National Netball Super League, ttiimu bbiri zokka okuli;  Prisons etendekebwa Imeldah Nyongesa ne Posta eya Rosette Kaala zezokka ezirina abatendesi abakazi nga endala zitendekebwa basajja nga ne ttiimu  y’eggwanga eya She Cranes etendekebwa musajja Fred Mugerwa.

Maneja wa kiraabu ya NIC nga era yaliko  maneja wa ttiimu y’eggwanga eyomuzannyo gwokubaka She Cranes agamba abakyala basaana okwetanira emisomo gyobukulembeze egitegekebwa akakiiko ka Uganda Olympic committee  olwono lwebanafuna obumanyirivu ku bintu ebikwata ku bukulembeze, “ Ucanda bwe yagambye

Okulaba nga abakazi beenyumiriza mu muzannyo guno oluvanyuma lwokuguzanya, kati ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwokubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation kitandise okubangula abakyala mubutendesi kwosa nobukomonsi bwa firimbi nga omu kukawefube wokubajja emabage okubateeka ku mwanjo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *