She Cranes ezze mu kifo kyamunaana.

0

Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya She Cranes egudde  mu nsengeka ya mawanga agasinga okubaka mu nsi yonna nga kati ekwata kifo kya munaana mu nsi yonna okuva mu kifo eky’omusanvu.

Kino kivudde ku kuba nga Uganda tezannyeeyo mipiira gya mukwano gyonna wakati wa November omwaka oguwedde ne February omwaka guno. Kati eggwanga lya Tonga lye lyaze mu kifo eky’omusanvu nga lisinga Uganda akabonero kamu.

Uganda erina obubonero 119 nga ate Tonga erina bubonero 120. Uganda eddiriddwa Wales mu kyomwenda n’obubonero 118 ekitegeeza nti  Uganda erina okulwana  okufuna emipiira egy’omukwano bunnambiro, World cup egende okutuuka nga ezz eeyo mukifo eky’omunaana oba eky’omusanvu.

Mu muzannyo gw’okubaka, ttiimu gy’ekoma okwetaba mu mpaka ez’enjawulo gy’ekoma okukung’aanya obubonero obugyongerako mu nsengeka.

Australia esigadde yeenywereza ku ntiko ng’ekwata kifo kisooka mu mawanga agasinga okubaka mu nsi yonna, New Zealand kyakubiri, Bungereza kyakusatu, Jamaica kyakuna , South Africa kyakutaano ate Malawi kyamukaaga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *