Gazelles yatuunse ne Misiri ku ze’kikopo kya fayinolo.

0

Gazelles  yatuunse ne Misiri ku fayinolo eyasazewo ani atwala ekikopo ky’empaka za Zone V n’okwesogga eza Afrika.

Lugenda kubeera lutalo lwennyini nga Misiri enoonya okwesasuza Uganda eyagikwakkuddeko wiini ey’obulumi (86-85) mu nsiike ey’ekibinja eyazannyiddwa ku Lwokusatu lwa wiiki eno.

Misiri okutuuka ku fayinolo kyaddiridde eggulo bwe yakubye Kenya (82-57), bannakenya baabadde tebanawangulwamu okuva empaka zino lwe zaatandika ku Lwokubiri (February 14, 2023) mu MTN Arena e Lugogo.

Abamisiri mu kibinja baafunye wiini ssatu bwe baakubye South Sudan (83-68), baafootodde Rwanda (102-56) ne bakutula ne Kenya (82-57) wadde baakubwamu Uganda (86-85).

Uganda yatandika bubi empaka zino bwe yakubwa Kenya (61-53), yakomawo n’efuna wiini ssatu ez’omuddiring’anwa okuli okukuba Misiri (86-85), n’eruma South Sudan (74-53) ate eggulo yamezze Rwanda (78-70).

Embeera eno yatadde Misiri ku ntikko lwa njawulo ya nsero 85 z’esigazaawo, wabula yenkanya obubonero (7) ne Uganda abali mu kyokubiri ne Kenya.

Kenya eyakutte ekyokusatu mu kibinja zaakuttunka ne South Sudan ku kulwanira ekifo ekyokusatu.

Ttiimu emu yokka ewangula fayinolo wakati wa Uganda ne Misiri yaakwegatta ku Rwanda abategesi b’eza Afrika okukiikirira Zone V wakati wa July 28 ne August 6, 2023 mu kibuga Kigali ekya Rwanda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *