Vipers ettunse ne Horoya ne baggweera mu maliri.

0

Bianchi ategeezezza nga gwakaggwa nti obutabeera na bateebi ba ntono kye kimu ku bimulemesezza okufuna ekiruubirirwa kye yatandise nakyo eky’okufuna obuwanguzi ku Horoya.

“Abateebi bakyetaaga okubangula. Kino kye ng’enda okwesibako nga tetubasamba Simba FC eya Tanzania ku Lwomukaaga e Kitende mu mupiira ogw’okusatu era ogw’okubiri awaka.

Batuwangudde naye omusambi wange Isa Mubiru okuweebwa kkaada emuyfu mu ddakiika eye 78 kitukosezza nnyo,” Bianchi bw’ategeezezza.

Wabula agamba nti mumativu n’engeri abasambi begye baasasaanyizza omupiira naddala obuvumu bwe boolesezza oluvannyuma lw’okukubwa Raja Casablanca eya Morocco ggoolo 5-0 mu gwasooka.

Mubiru yakoze ebisobyo bibiri ekya kkaada eya kyenvu ezaamuweesezza emyufu wakati mu kuzibira abasambi ba Horoya.

Kyokka Bianchi yeevumye emikisa abateebi Desire Tety ne Omadjondo Osomba abaasiinze okusubwa.

Wakati mu kunoonya ggoolo, Bianchi yayingizza Ibrahim Olit, martin Kizza ne Abdukarim Watambala abaasikidde Yunus Sentamu, Tety ne Osombo.

Ate yo Simba SC eya Tanzania ekubiddwa Raja Casablanca ggoolo 3-0 bwe yagikyalidde e Tanzannia.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *