Lwaki emidaali mitono mu misinde gya’bakazi?

0

Kiddiridde abaddusi bano okuvumbeera mu misinde gy’ensi yonna egya World Athletics Cross Country Championships egyayindidde mu Bathurst ekya Australia ku Lwomukaaga.

Ku baddusi 23 abaakiikiridde Uganda mu mpaka zino, 13 baabadde bakazi nga 10 basajja kyokka bwe kyatuuse mu kuwangula emidaali, tewali mukazi (ssekinnoomu) yawangudde mudaali.

Kino kitiisizza abakwatibwako guno nga bagamba nti singa tewabaawo kikolebwa kibiina ekiddukanya misinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation, kuyamba abaddusi abakazi, emidaali mu bo gyandifuuka olufumo.

Prisca Chesang ye muddusi omukazi eyasinze okukola obulungi mu misinde gino naye yaakasuumusibwa okudduka mu gy’abakulu.

Yamalidde mu kyamusanvu, Stella Chesang kya 10, Doreen Chesang mu kya 11, Annet Chelangat kya 13, Rispa Cherop kya 16 ate Mercyline Chelangat yamalidde mu 32.

Omutendesi w’emisinde Nalis Bigingo agamba nti abaddusi abakyala abasinga bwe bawangula empaka ennene, basuula ennanga nga balowooza nti batuuse abamu bafuna embuto ne bazaala, ekibaviirako abamu okumala emyaka ebiri oba okusingawo nga tebadduka.

“Ebizibu ebijja n’okuzaala tebiba byangu. Oluvannyuma lw’okuzaala, abaddusi balina omukisa nga bafunye n’okutendekebwa okulungi baddamu okuvuganya ate abateefuddeeko, tebakomawo. Wabula kitukakatako nga abakulembeze okusigala nga tulondoola abaddusi bano tulabe ebigenda mu maaso mu bulamu bwabwe,” Bigingo bwe yategeezezza.

Ku baddusi abakazi 13 abaagenze mu mpaka zino, babiri ku bo (Stella Chesang ne Mercyline Chelangat baazaalako nga bano baazaala baakava mu mizannyo gya Commonwealth egyali mu kibuga Gold Coast ekya Australia mu 2018. Chesang yawangula zaabu mu gya mmita 10,000 mu mizannyo egyo ate Chelangat n’awangula omudaali gw’ekikomo.

Wadde nga ttiimu ya Uganda ey’abakyala yamalidde mu kyakusatu n’ewangula omuddaali ogw’ekikomo, guno si gwe mutindo ogwabadde gubasuubirwamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *