Mwere ateebye ggoolo mukaaga n’acamula eza beach soccer.

0

Nicholas Mwere emmunyeenye ku ttiimu y’eggwanga eya beach soccer yalaze omutindo agwasikirizza abalonda ttiimu y’eggwanga okuddamu okumuyita. Yateebye ggoolo 6 n’ayamba ttiimu ye okuwuttula Wolves BSC (7-2) mu mupiira gwa liigi ogwazannyiddwa ku kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru ku Ssande.

Mwere eyalaga omutindo omulungi we yateeba ggoolo 5 ku ttiimu y’eggwanga ng’eggyamu Seychelles mu kusunsula wabula eky’embi n’asuulibwa ku tiimu eyeetaba mu mpaka za Afrika.

Wabula ku Ssande, Mwere yalaze omutindo bwe yateebye ggoolo munaana mu mipiira omwabadde n’ebbiri ze yateebye nga Jinja Lions BSC ewuttula KJT BSC (5-3).

“Nazze njagala kuyamba ttiimu yaffe kudda ku ntikko ya liigi oboolyawo abatendesi ba ttiimu y’eggwanga banaddamu okundowoozaako,” Mwere bwe yagambye.

Obuwanguzi bw’emipiira ebiri bwayambye Jinja Lions BSC okudda ku ntikko ya liigi ya beach soccer ku bubonero 12 oluvannyuma lwa St Lawrence BSC okuwuttula Mutoola 4-1 mu gwagguddewo olunaku.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *