Abasituzi b’obuzito beepikira za uganda open para powerlifting.

0

Abasituzi b’obuzito abaliko obulemu batandise okwebugira empaka z’okusitula obuzito ez’eggwanga eza Uganda Open Para powerlifting Championships ez’omulundi ogusooka  nga zaakubaawo nga mu April nga 9 ku MTN Arena e Lugogo.

Okwewandiisa okwetaba mu mpaka zino kwatandise dda oluvanyuma  lw’okutongozebwa ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde ku kitebe kya kakiiko akalabirira ebibiina by’emizannyo mu ggwanga aka National Council of Sports e Lugogo. 

Abazannyi 100 nga ku bo 60 baliko obulemu ate 40 nga tebaliiko bulemu be basuubirwa okwetaba mu mpaka zino. Abazannyi abakize ku bannaabwe baakuweebwa ebirabo ebibasiima.

Abamu ku bazannyi abagenda okwetaba mu mpaka zino okuli Safalu Tamale ne Dennis Mbaziira bagamba nti beesunga ssaawa mulindwa okulaba nga bateekawo okuvuganya okwa maanyi.

“Nze neesunze okuvuganya n’abasituzi b’obuzito abataliiko bulemu kuba mmanyi nti tewali asinga. Era ali eyo nga alowooza ansinga ajje tubiisane ku lunaku olwo,” Mbaziira bwe yategeezezza.

Ate ye Safalu Tamale ategeezezza nga guno bwe guli omukisa omunene gy’ali okulaba ng’agenda kuvuganyizaako awaka mu muzannyo gw’okusitula obuzito.

“ Nkubiriza abazannyi bonna abaliko obulemu okujja okwetaba mu mpaka zino kubanga guno omukisa gwe bafunye tegutera kulabikalabika . Mmanyi nga empaka zino zijja kutuwa okuvuganya okwamanyi,” Tamale bwe yannyonnyodde.

Empaka zino zaakutegekebwa buli mwaka n’ekigendererwa ekyokutumbula ebitone bya bazannyi abaliko obulemu nga akakiiko ka Uganda Paralympic Committee kalina enteekateeka okuzifula ez’ensi yonna omwaka ogujja.

Empaka zino ziwagiddwa ekibiina kya bwannakyewa ekya Dream Achievers Foundation Uganda Limited wamu ne Munno Media era abazannyi abagenda okwetaba mu mpaka zino batandika leero okwewandiisa ku ggiimu ya ISK mu Ndeeba.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *