Munnayuganda musaayi muto omuddusi w’embiro empanvu, Prisca Chesang ayongedde okulaga nga bw’ayolekedde okufuuka omukyala atawunyikamu mu muzannyo gw’emisinde wano mu ggwanga.

Chesang yabaddemu mu misinde  za Maurie Planet meet ezaayindide mu kibuga Melbourne ekya Australia nga yavuganyiZza mu mbiro za mmita 3000

Chesang embiro za mmita 3000 yaziddukidde eddakiika 8 ne sekonda  48 n’obutundu 85 nga zaawanguddwa Senayet Getachew enzaalwa eya Ethiopia eyaziddukidde eddakiika 8, sekonda 46 n’obutundu 54.

Okwetaba mu mpaka zino, Prisca Chesang abadde kyajje ave mu misinde gy’okutolontoka ebyalo egy’ensi yonna egya World Athletics Cross Country Championships egyabadde mu Bathurst ekya Australia ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde.

Mu misinde  gya World Athletics Cross Country championships Chesang ye mukazi eyasinze okukola obulungi nga yamalidde mu kifo kyamusanvu mu mbiro za kiromita 10 ez’abakazi bakafulu. 

Munnayuganda omulala eyabadde mu mpaka zino, Dan Kibet naye yawangudde omudaali ogw’ekikomo mu mbiro ze zimu eza mmita 3000  nga zaawanguddwa munnakenya Ishmael Kipkurui, ate Munnayuganda omulala Kenneth Kiprop eyabadde mu mbiro zino yamalidde mu kyamukaaga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *