Fa ya bungereza enonyereza ku ba arsenal abakoze effujjo ku kevin de bryne.

0

Ekibiina ekitwala omupiira mu bengereza ekya fa, kitandise okunonyereza ku ttiimu ya arsenal oluvannyuma lwa bawagizi abaakoze effujjo ku musambi wa Manchester city kevin de bryne gwebakanyugidde obuccupa. Manchester city mu mupiira guno yawangudde arsenal goolo emu ku bwereere era nga gwabadde mu maka ga arsenal aga emirates stadium.

Bino byonna byavudde ku mutendesi wa arsenal mikel arteta eyasambye omupiira kevin de bryne gweyabadde ajjawo agukanyuge wabula ono ye yasindise mutendesi wa arsenal ekitaasanyusiza bawagizi ba arsenal era ku nkomerero bamwanukuza buccupa. Ddiifiri eyabadde mu mupiira guno Anthony taylor ensonga eno yajiwandiise mu bbaluwa wye eroopa omupiira nga bwegubadde era nga yemu kunsonga lwaki fa esitukiddemu enonyereze.

Kevin de bryne yateebye goolo mu mupiira guno ate nateekawo n’omukisa oguvaamu goolo. Manchester city yawanudde arsenal waggulu we kimeza wadde nga bonna balina obubonero 51.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *