Ttiimu ya Uganda ey’emisinde ewera kusiitula midaali mu z’ensi yonna.

0

Mu misinde gy’okutolotoka ebyalo egya 2019 egyali mu kibuga Aarhus ekya Denmark, Jacob Kiplimo yamalirira mu kifo kyakubiri bwe yawangula omudaali ogwa feeza ng’omutendera gw’abasajja basiniya gwawangulwa Munnayuganda munne Joshua Cheptegei. 

Ku mulundi guno, Kiplimo akomyewo mu mpaka zino omulundi ogwokubiri ogw’omudiring’anwa nga mumativu nti okutendekebwa kw’afunye kwakumusobozesa okuwangula omudaali ogwa zaabu.

Kiplimo ne ttiimu yonna baasitudde eggulo ku makya okugenda mu kibuga Bathurst ekya Australia okwetaba mu misinde gy’ensi yonna egyokwetooloola ebyalo egya World Athletics Cross Country Championships egy’okubaawo nga February 18. Nga ttiimu tennasitula, yasoose kusiibulwa ku kitebe kya kakiiko ka National Council of Sports (NCS) e Lugogo ng’omukolo gwakoleddwa amyuka omuwandiisi wa NCS, David Katende.

Kapiteeni wa ttiimu, Joshua Cheptegei ye yasoose okutuuka Australia era omumyuka we Stella Chesang ye yakwasiddwa bendera. Mu kusiibula ttiimu, Katende yatendeerezza enteekateeka y’ekibiina ky’emisinde ey’okuteekateeka bamusaayimuto okuddira abakulu mu bigere.

“Nga NCS tuli bagumu nti ttiimu egenda, yaakusobola okudda n’emidaali egiwera. Nga bwe baakikola mu 2019 era mmanyi basobolera ddala okukiddamu,” Katende bwe yategeezezza.

Omuwendo gw’abaddusi abagenze mu mpaka zino gwesaze okuva ku 26 okudda ku 23 oluvannyuma bw’abaddusi basatu ku ttiimu y’abalenzi ento okulemwa okufuna viza.  Kino kitegeeza nti abaddusi abasajja baasigadde 10 ng’abakazi bali 13.

Omutendesi wa ttiimu, Benjamin Njia ategeezezza nti kino kyakukosa nnyo ttiimu y’abalenzi ento kuba kitegeeza nti basigadde kulwanira midaali gya ssekinnoomu nga tebasobola kufuna bubonero bwa ttiimu kuba tebawera.

Empaka z’ensi yonna ez’okutolontoka ebyalo ezikyasembyeyo zaali mu Aarhus ekya Denmark nga Uganda ye yawangula omutendera gw’abasajja oluvannyuma lw’okuwangula emidaali ebiri ogwa zaabu ne feeza nga gyawangulwa Joshua Cheptegei ne Jacob Kiplimo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *