Uganda yeesunga midaali mu misinde gy’ensi yonna.

0

Ttiimu y’eggwanga ey’emisinde esitula mu kiro kya leero okwolekera ekibuga Bathurst ekya Australia okwetaba mu misinde gy’ensi yonna egy’okutolontoka ebyalo egya World Cross Country Championships egy’omulundi ogwa 44 egy’okubeerawo nga 18 mumwezi gwokubiri .

Ttiimu yaakubera wansi w’omutendesi Benjamin Njia ng’ono mugumu nti baakuvaayo n’emidaali egiwera.

“Okweteekateeka kuwedde kati tusigalidde kimu kutuuka mu Australia kwetaba mu mpaka. Ttiimu yange ngirinamu obwesige era mmanyi nti obuwanguzi bwaffe,” Njia bwe yategeezezza.

Bannayuganda essuubi libali mu baddusi okuli; Joshua Cheptegei ne Jacob Kiplimo okulaba nga babawangulira empaka zino nga bwe gwali mu 2019 mu ggwanga lya Denmark.

Cheptegei aluubirira kuddamu kuwangula mpaka zino omulundi ogw’omuddiring’anwa ng’ate Jacob Kiplimo aluubirira kuziwangula mulundi gwe ogusookedde ddala oluvannyuma lw’okumalira mu kifo ekyokubiri mu za 2019.

Mu mutendera gw’abakazi, amaaso Bannayuganda bagatadde ku Prisca Chesang, Stella Chesang ne Mercyline Chelangat nga bangi basuubira nti musaayimuto Prisca Chesang okudda n’omudaali.

Empaka z’ensi yonna ez’okutolontoka ebyalo ezikyasembyeyo zaali mu Aarhus ekya Denmark nga Uganda ye yawangula omutendera gw’abasajja oluvannyuma lw’okuwangula emidaali ebiri ogwa zaabu ne feeza nga gyawangulwa Joshua Cheptegei ne Jacob Kiplimo.

Uganda yamalira mu kifo kyakusatu nga yakung’aanya emidaali mukaaga nga ku gyo ebiri gya zaabu, ebiri gya feeza ate ebiri gya kikomo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *