Uganda Gazelles etandise bubi eza basketball.

0

Gazelles etandise bubi empaka za Zone V ez’okusunsulamu ttiimu ezineetaba mu za Afrika (Women Afrobasket), bw’ekubiddwa Kenya 61-53 mu nsiike eyasoose.

Eggulo, Kenya abalina ekikopo kya Zone V kye baawangula sizoni ewedde, baakomyewo nga bakambwe ekyawadde Uganda akaseera akazibu.

Okumalako omuzannyo gwonna Uganda yabadde yeekwata ku bisubi, Kenya ‘quarter’ eyasoose yagikulembedde n’ensero (16-7) era ekitundu ekisooka kyagenze okukomekkerezebwa ng’ekyali waggulu (34-25).

Gazelles yagezezzaako okukomawo mu kibalo mu ‘quarter’ eyookusatu bwe yagimazeeko nga bagikulembedde n’enjawulo ya nsero emu yokka (43-42). Wabula ate mu ‘quarter’ esembayo, Kenya yatabuse okuwangula omuzannyo (61-53).

Jannon Otto, Munnayuganda ebeera mu America ye yasinze okuteebera Uganda n’ensero 11, Brenda Ekone ne Hope Agnes Akello 10 buli omu. Ate Christine Akinyi yabadde musaale nnyo nga Kenya ewangula, yateebye ensero 14 ne libaawundi 12, Mercy Wanyama ensero (15) ate Madine Okot yakoze libaawundi 20.

Leero Uganda ekomawo mu nsiike ng’ettunka ne Misiri eyakubye South Sudan (83-68) mu nsiike yaabwe eyasoose eggulo (Lwakubiri). Uganda erina okulwana ennyo okufuna wiini ku Misiri okutangaaza emikisa gy’okwesogga eza Afrika.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *