Ekibiina ky’okuwuga kisomesezza abaamawulire ku mateeka gaakyo.

0

Ng’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga ekya Uganda Swimming Federation kikyagenda mu maaso n’okwetegekera liigi y’eggwanga ey’omuzannyo guno eya Uganda National Swimming League, ku mulundi guno kisazeewo okubangula bannamawulire ku bintu eby’enjawulo ebikwata ku muzannyo gw’okuwuga.

Abakulira omuzannyo bategeezezza nti okubangula bannamawulire kyakuyamba okuwa abantu amawulire amatuufu agakwata ku muzannyo gw’okuwuga.

Omusomo guno ogwakulungudde olunaku olumu ku Eritine Swimming Pool e Buwaate ng’amyuka pulezidenti w’ekibiina ky’okuwuga, Tonny Kasujja yategeezezza nti abaamawulire bwe bategeera ebisoko ebiri mu muzannyo guno, kiba kyangu okugusomesa n’okugwagazisa abantu.

“Abaamawulire be batuyamba okwogera n’eggwanga lyonna. Bwe baba nga bye bawandiika bikyamu, kitegeeza nti n’abantu bagenda kumanya bikyamu era twagadde abaamawulire basooke bategeere omuzannyo baguwandiikeko nga bye bawandiika babikuguseemu,” Kasujja bwe yannyonnyodde.

Buli mwaka ekibiina kya Uganda Swimming Federation kisomesa abaamawulirire basoba mu 20 nga sizoni tennatandika okubajjukiza amateeka agafuga omuzannyo guno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *