Ttiimu z’okuwuga zeetegekera liigi ya ggwanga.

0

Ttiimu z’okuwuga zeetegekera liigi ya ggwanga.Kiraabu z’okuwuga ezisoba mu 25 ze zisuubirwa okwetaba mu liigi y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okuwuga eya Uganda National Swimming League ey’omwaka guno. Liigi eno y’esookedde ddala mu byafaayo by’omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga.

Liigi yaakuwugibwa akawuuwo mu bitundu bisatu ng’ekisooka kitandika nga February 25 -26, ekyokubiri kibeewo nga April 29-30 April ate ekitundu ekyokusatu kyakuwugibwa wakati wa September 23-24.

Pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya okuwuga mu ggwanga ekya Uganda Swimming Federation, Moses Mwase mugumu nti liigi eno yaakutambulira ku nteekateeka gye baalina awatali okutaataagana.

“Twagala kuwa abawuzi okuvuganya okw’amaanyi ng’eno y’emu ku nteekateeka ze tulina okulaba ng’omuzannyo gw’okuwuga gukula mu ggwanga,” Mwase bwe yategeezezza.

Tonny Kasujja, omu ku baddukanya kiraabu ya Dolphins emu ku zigenda okuvuganya mu liigi eno, yategeezezza nti beetegese bulungi era balinze kiva mu kibiina kya kuwuga.

“Liigi eno ejja kuwa abaana baffe naddala abo abatafuna mukisa kugenda bweru wa ggwanga okufuna okuvuganya kwe beetaaga. Abaana baffe bali mu mbeera nnungi era tebalekangayo kutendekebwa era mmanyi nti tuli baakumalira mu bifo ebisatu ebisooka omwaka guno,”Kasujja bwe yagambye.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *