Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga ekya Uganda Swimming Federation kyakubangula abawuzi mu bukodyo obw’enjawulo ng’omu ku kaweefube waakyo okukulaakulanya omuzannyo guno mu ggwanga.

Okutuukiriza kino, bategese omusomo ogunaabeera ku Agha Khan Education Service ku Gadaffi Road mu Kampala.

Omusomo gwakubaawo ku Lwomukaaga lwa wiiki eno ng’abawuzi abali waggulu w’emyaka 13 be bakkirizibwa okugwetabamu.

Ebimu ku bitunuuliddwa mulimu okuteekateeka abawuzi nga sizoni eno tennatandika, okubasomesa ku kabi akali mu biragalalagala, okweteekerateekera ebiseera by’omu maaso nga bannyuse wamu n’okumanyisa abazannyi eddembe lyabwe.

Ng’omusomo guwedde, abawuzi abaneetaba mu musomo guno baakuweebwa amabaluwa agalaga nga bwe babanguddwa mu bukodyo obw’enjawulo. 

Omukulembeze w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga, Moses Mwase yategezezza nti ng’abakulirira omuzannyo guno baasazeewo okusooka okubangula abazannyi n’abatendesi bwe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *