Kyambogo ewadde abawuzzi  ettaka okuzimbako ekidiba omuwugirwa.

0

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga ekya Uganda swimming Federation kifunye akaseko ku matama oluvannyuma lw’ettendekero lya Kyambogo okubawa ettaka we bagenda okuzimba ekidiba ekiri ku ddaala lya Olympics.

Ettaka eribaweereddwa libalirwako yiika 25 ng’enteekateeka z’okuzimba ekidiba kino zaakutandika omwaka guno 2023.

Ekibiina kyokuwuga era kirina nenteekateeka okuzimba ekiddiba kyokuwuga ku ttendekero lya Makerere business School ng’ekidiba kino kyabaweebwa ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okuwuga mu nsi yonna ekya World Aquatics nga kino kya mmita 25 ne layini eziwugirwamu mukaaga.

Akulira ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga Moses Mwase ategeezezza nti kati bali ku mutendera ogumaliriza ebiwandiiko mu mateeka ne ttendekero lya Kyambogo  nga basuubira nti amatendekero amalala nago gaakugula enteekateeka eno okuzimba ebidiba.



“Ekidiba ekibiina kya World Aquatics kye kyatuwa kyali kitono ddala nga na bwe kityo, ng’ekibiina twalina okutema empenda ku butya bwe tuyinza okuggya ssente ezizimba ekidiba ffe kye twetaaga. Ndi musanyufu nti waliwo abavuddeyo okutukwatirako era nga mmanyi nti omwaka guno we gunaggweerako tujja kuba n’ omulimu ogulabikako,” Mwase bwe yategezeza

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *