Abawuuzzi  batandiseewo liigi y’eggwanga.

0

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okuwuga mu Ggwanga ekya Uganda Swimming Federation kirangiridde nga bwe kitandise liigi y’okuwuga mu eneeyitibwa Uganda National Swimming League.

Liigi eno yaakuwugibwa emirundi essatu mu mwaka ng’ekitundu ekisooka kyakubaawo wakati wa February 25-26, ekyokubiri kibeewo wakati wa April 29-30 ate ekyokusatu wakati wa September 23-24.

Liigi y’okuwuga y’emu ku nteekateeka z’ekibiina okulaba ng’omuzannyo guno gwongera okukula mu ggwanga wamu n’okussaawo okuvuganya okw’amaanyi wakati mu bawuzi b’eggwanga.

Amyuka pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno mu ggwanga, Tonny Kasujja ategeezezza nti bagenze okwetegereza ng’ekibiina kirina empaka ntono ze kitegeka wano ng’abawuzi babadde bagenda nnyo ebweru ng’abatali ku ttiimu ya ggwanga eba erondeddwa, tebafuna mukisa kwolesa kitone kyabwe.

“Twagala okuwa buli muwuzi omukisa okuvuganya mu mpaka ez’enjawulo nga n’omuwuzi abeera tagenze bweru, naye afuna omukisa okulaga ky’alinawo,” Kasujja bwe yategeezezza.

Liigi eno yaakwetabwamu kiraabu z’okuwuga ezisoba mu 20 mu ggwanga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *