Abawangudde emidali mu mizannyo gya yunivasite baakukiikirira ggwanga mu gy’ensi yonna.

0

Peninnah Kabenge ng'akwasa abawanguzi ebikopo

Abayizi ba yunivasite za Uganda abaasukkulumye mu mizannyo gy’omu buvanjuba bwa Afrika egyabadde e Ndejje beebugira kukiikirira ggwanga mu gy’ensi yonna omwaka ogujja.

Emizannyo gy’ensi yonna egya World University Sports gyakubeerawo wakati wa June ne July. Gino gyakubeerawo wakati wa June 26 ne July 7, 2021 mu kibuga Chengdu ekya China wabula egya Olympics n’okubalukawo kwa Covid-19 ne bigiremesa.

Oluvannyuma gyazzibwa mu June 2022 wabula era ne kitasoboka. Okusinziira ku Leonz Eder, pulezidenti w’ekibiina ekitwala emizannyo gya yunivasite mu nsi yonna, gye buvuddeko yagambye nti gigenda kutegekebwa wakati wa June ne July omwaka ogujja.

Abeesunga okukiikirira Uganda

Mu misinde; Abaddusi ba Ndejje 35, aba UCU, Makerere (6), MUBS (5), Bugema (2), Bishop Stuart (2) ne Kyambogo (2).

Badminton; Abazannyi ba Makerere 7, aba Ndejje 4, Victoria University (2) ne UCU 1.

Chess; Aba Makerere 5, Victoria University (2), Kyambogo (2) ne MUBS 1.

Darts; Aba Ndejje 2, Makerere, Busitema ne Nkumba buli omu omu.

Karate; Aba Ndejje 14, KIU (16) ne Makerere (6).

Scrabble; Aba Makerere (4), Busitema (4) ne MUBS (2).

Okuwuga; Aba Ndejje 42, MUBS (22), Makerere (24), Kyambogo (7) ne Kampala University (1).

Tenna y’oku mmeeza; Abazannyi ba UCU (2), MUBS (6), KIU (1), Ndejje (5), Makerere (2) ne Mbarara University (1).

Taekwondo; Aba Ndejje 9, Busitema 1, Gulu (5), Makerere (3) ne KIU 1.

Tenna; Makerere (3), Victoria University (2), ne UCU 2.

Woodball; Ndejje (7), MUBS (4), Makerere (3), KIU (4), Bishop Stuart ne Unik buli emu 1.

Abakulira AUUS kye bagamba;

Peninnah Kabenge pulezidenti w’ekibiina ekifuga emizannyo gya yunivasite mu ggwanga agamba nti abazannyi bonna abaawangudde emidaali mwe mugenda okusunsulwa abagenda e China, wabula tebasuubira kutwala muzannyo gwetaaga ttiimu ejjudde olw’ebbula ly’ensimbi.

“Okutwala omuzannyo ogwetaaga ttiimu kitwetaagisa buli muzannyi okumusasulira Euro 70 buli lunaku lw’amala mu mpaka zino, kwossa Euro 10,000 eziwandiisa buli muzannyo, tewali ssente,” Kabenge bwe yategeezezza.

Emizannyo okuli; omupiira, volleyball, basketball, beach handball, handball, Goal ball, hockey, okubaka, rugby n’emirala egizannyibwa nga ttiimu gye gisuubirwa obutagenda China.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *