Omutendesi wa Uganda Cranes (ttiimu y’eggwanga ey’omupiira) Milutin Sredojevic Micho asudde abazannyi 12 nga beetegekera okugenda mpaka z’ekikopo kya CHAN ezitandika wiiki ejja mu Algeria.

Zino z’empaka ezeetabwamu abazannyi bokka abazannyira mu liigi z’awaka, Cranes esitudde leero Ssande okwolekera ekibuga Sousse ekya Tunisia gye bagenda okukuba enkambi n’okuzannyamu emipiira gy’omukwano n’awanga okuli; Cameroon ne Mali.

Micho yasazeeko; Grant Matsiko, Arthur Kiggundu, Filbert Obenchan, Bright Vuni, Hussein Ssenoga, Kagawa Ssenoga, Cromwell Rwothomio, Saidi Kyeyune, Ibrahim Kasule, Emmanuel Kalyowa, Mathias Muwanga ne Abdu Maganda.

Asigazza abazannyi 25 b’agenda okukozesa mu za CHAN ezitandika wakati wa January 13 ne February 4 mu Algeria. Uganda eri mu kibinja B omuli; Democratic Republic of Congo, Senegal ne Ivory Coast.

Guno gugenda kuba mulundi gwa 6 Uganda okwetaba mu CHAN oluvannyuma lwa 2011, 2014, 2016, 2018 ne 2020 wabula gyonna ebadde teva mu kibinja.

Abazannyi 25 abagenze;

Muggoolo; Nafian Alionzi (URA FC), Joel Mutakubwa (Gaddafi FC), Jack Komakech (Vipers SC)

Abazibizi; Ashiraf Mandela (Vipers SC), James Begisa (URA FC), Derrick Ndahiro (URA FC), Isa Mubiru (Vipers SC), Hillary Mukundane (Vipers SC), Kenneth Ssemakula (SC Villa), Geoffrey Wasswa (KCCA FC), Gift Fred (SC Villa)

Abawuwuttanyi; Siraje Ssentamu (Vipers SC), Marvin Joseph Youngman (Vipers SC), Abdu Karim Watambala (Vipers SC), Moses Waiswa (KCCA FC)

Abateebi; Milton Karisa (Vipers SC), Ibrahim Orit (Vipers SC), Travis Mutyaba (SC Villa), Moses Aliro (Wakiso Giants FC), Rogers Kassim Mato (KCCA FC), Bright Anukani (Vipers SC), Titus Ssematimba (Wakiso Giants), Frank Ssebufu (Wakiso Giants FC), Najib Yiga (Vipers SC), Nelson Ssenkatuka (Soltilo Bright Stars FC)

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *