SC VILLA FC efuumudde eyaliko omuzannyi waayo era omutendesi wa ttiimu y’abatasussa myaka 17, Phillip Ssozi ku butendesi bwa ttiimu eno.

Ssozi abadde akola ku mutindo gwa ttiimu ya Villa enkulu ng’agattako okutendeka Villa y’abasussa myaka 17.

Ono yeegasse ku Dan Mubiru ne Brenda Nambalirwa nabo abaafuumuddwa mu ttiimu eno era ekifo kya Mubiru kyazziddwaamu Suliat Makumbi nga manaja wa ttiim omupya. Abaagobeddwa babalanga ntambuza ya mirimu mu ngeri eteri nnambulukufu nga kigambibwa nti kiviiriddeko ttiimu eno okuzing’ama.

Ssozi avumbudde ebitone ebipya mu kisanja kye bw’aleese bamusaayimuto okuli; Gavin Kizito Mugweri, Shafik Nyanzi, Juma Sekiboogo (Stahiza), Salim Abdallah ne Charles Lwanga nga kw’otadde n’abazannyi abalala.

Nga omuzannyi, Ssozi yawangulira Villa ebikopo ebiwerako nga tanneegatta ku FC Srem ey’e Serbia n’oluvannyuma ne yeegatta ku Express FC.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *