Vipers eri mu kaweefube wa kufuna mutendesi

0

Vipers, eyeetegekera okuzannya mu bibinja bya CAF Champions League omulundi ogusooka mu byafaayo, eri mu kaweefube wa kufuna mutendesi mulala.

Haruna Kyobe, omu ku bakungu ba Vipers, yategeezezza nti bakyayigga mutendesi wabula wadde tebannamufuna, ababadde abamyuka ba Oliviera be basuubirwa okubeera mu mitambo gya ttiimu mu kutendeka okusooka singa banaalwawo okufuna omutendesi omujjuvu.

“Abamyuka weebali era basobola okukola omulimu omulungi. Singa omutendesi gwe tunoonya tunaalwawo okumufuna, baakutandika okutegeka ttiimu nga bwe balinda mukama waabwe,” Kyobe bwe yategeezezza.

Vipers babadde baakutandika okutendekebwa ku Lwomukaaga kyokka ne bongezaayo okutuuka ku Mmande mu kaweefube w’okwetegekera ez’ebibinja bya CAF ne liigi omwezi ogujja.

Singa Olwomukaaga lutuuka nga tebannafuna mutendesi, Daniel Male, Ibrahim Mugisha ne Ibrahim Kato ababadde abamyuka ba Oliviera be bajja okubeera mu mitambo gya Vipers.

Nga Oliviera tannagenda, Marceki Cardoso, eyali omumyuka we ye yasooka okuddayo ewaabwe e Portugal okubaako by’amaliriza.

Male yategeezezza nti baabadde baakutandika Lwamukaaga (January 7) kyokka bongezzaayo okutuusa ku Mmande. “Twabadde baakutandika oluvannyuma lwa wiiki emu ng’Olusooka luwedde kyokka bakama baffe baatwongezzaayo era kye tukyaliko,” Male bwe yategeezezza Bukedde.

Omukungu omulala yategeezezza nti tebamanyi kiddako kuba enteekateeka ezaaliwo zaakyuka era balinze kiva mu bakama baabwe.

Ensonda zaategeezezza nti nnannyini Vipers, Dr. Lawrence Mulindwa ayagala mutendesi Muzungu ng’abamu ku bakungu ba ttiimu baagala alonde mu batendesi ba wano akole nga ow’ekiseera.

Abawagira okuguwa abatendesi ba wano bagamba nti obudde bw’okutegeka ttiimu ya Champions League buweddeyo kyokka nga waliwo abatendesi ba wano abalina obumanyirivu.

Mike Mutebi ne Sam Ssimbwa mu kiseera kino tebalina ttiimu ze batendeka. Mutebi yatuusa KCCA mu bibinja bya Champions League mu 2017.

Mu Champions League, Vipers eri mu kibinja C ne Raja Casablanca (Morocco), Horoya (Guinea) ne Simba (Tanzania). Empaka zitandika wakati wa February 10 ne 11.

Mu liigi, Vipers yaakubiri ku bubonero 27 emabega wa KCCA eri ku 29.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *