Nnamungi womuntu yeekulungudde okweyiwa mu kisaawe kya Urbano Caldeira nga kino ge maka ga Santos azanyira mu liigi ya Brazil. Bano baabadde bagenze kukuba liiso vvanyuma ku yali ssita wabwe ,Edson Arantes do Nascimento `Pere’.

Pere, yafa mu kiro ekyakeesa olwokutaano lwa wiiki ewedde oluvanyma lwo’kumala omwezi mulamba mu ddwaliro nga alwanagana ne kookolo.

Mu bantu abaabadde ku kisaawe kino mwabadde mu Puezidenti w’ekibiina ekitwala omupiira mu nsi yonna[FUFA],Gianni Infantino,Pulezidenti wa Brazil,Luiz Inacio Lula da Silva,abeng’anda’emikwano n’ebikonge ebirala bingi.

Omulambo bwe gwaggyiddwa mu ddwaliro baasoose kugutwalako mu maka ga nnyina oluvannyuma ne baguyisa ku nguudo ez’enjawulo okutuuka ku kisaawe.Yaziikiddwa mu limbo. Infatino,yasuubiza aba ffamire nti agenda kulagila buli ggwanga lizimbe ekisaawe kituumibwe Pere ng’akabonero k’okujjukira by’akoledde omupiira.

Ensonga lwaki yatwaliddwa mu kisaawe kya Santos ye y’okuba nti obulamu bwe obusinga mu mupiira yabumala mu ttimu eno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *