Abazannyi abawoonye obuvune bawadde abawagizi essanyu.

0

Nantege yafuna obuvune mu kakongovvule ng’abattunka ne Kampala Queens mupiira ogw’abawa obwakyampiyoni bwa liigi sso nga Nankya yalwalira ku ttiimu y’eggwanga nga beetegekera empaka za WAFCON bwe yafuna obuvune mu vviivi.

Abawagizi ba She Corporate n’aba UCU Lady Cardinals basanyufu bya nsusso olw’abazannyi baabwe ababadde abalwadde okussuuka obuvune. Ronah Nantege owa She Corporate ne Shadia Nankya owa UCU Lady Cardinals baafuna obuvune ku nkomerero ya sizoni ewedde ne bamala ekiseera ekiwerako nga bali ku ndiri. Wabula ekitundu kya liigi ekyokubiri bwe kyabadde kiddamu, abazannyi bombi baabadde ne ttiimu zaabwe.

Nantege yafuna obuvune mu kakongovvule ng’abattunka ne Kampala Queens mupiira ogw’abawa obwakyampiyoni bwa liigi sso nga Nankya yalwalira ku ttiimu y’eggwanga nga beetegekera empaka za WAFCON bwe yafuna obuvune mu vviivi.

Ku Lwomukaaga, Nankya yazannye eddakiika 70 nga battunka ne Kawempe Muslim era yawadde abawagizi essanyu olw’omutindo gwe yayolesezza sso nga ye Nantege abawagizi bamukubidde emizira bwe yayingiddeemu nga bamegga She Mak ggoolo (3-0) ku Ssande.

Nantege agamba nti yali tasuubira kudda ku mupiira oluvannyuma lw’okufuna obuvune buno wabula yeebaza Katonda okulaba ng’addamu okulinnya ku kisaawe sso nga ye Nankya yeebaza abantu ab’enjawulo abamubeereddewo okulaba ng’adda ku mupiira.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *