Ttiimu za rugby zitandise okwenyweza mu liigi.

0

“Twatandise bulungi era gwakyuse tikulembedde ku bugoba 31-03 wabula mu kyokubiri twafuniddemu obugoba butaano bwokka. Tukyalinamu abazannyi abalina obuvune  naye kati tutunuulidde gwa Hippos gye tukyalira e Jinja ku Lwomukaaga.”

Ttiimu za rugby zitandise okuwanga ggiya eneeziwa obwakampiyoni bwa liigi eno sizoni eno. Ku wiikendi, bakirimaanyi baawangudde emipiira egibakuumira mu bifo by’oku mwanjo. Pirates ekulembedde ttebo yabadde ku butaka e Bweyogerere ku kisaawe kya King’s Park n’ewangula Buffaloes ku bugoba 22-9 sso nga Kobs nayo yawangudde Hippos ku bogoba 35-15 ku kisaawe kya Legends e Lugogo.

Rhinos yanywesezza Heathens amazzi wadde nga yawangulidde ku bugoba 36-6. Gino gibadde mizannyo gyakusatu eri kiraabu mu liigi ya Nile Special Rugby League. Kapiteeni wa Heathens, Michael Wokorach yategeezezza nti wadde nga baawangudde, tebazannye bulungi naddala mu kitundu ekyokubiri.

“Twatandise bulungi era gwakyuse tikulembedde ku bugoba 31-03 wabula mu kyokubiri twafuniddemu obugoba butaano bwokka. Tukyalinamu abazannyi abalina obuvune  naye kati tutunuulidde gwa Hippos gye tukyalira e Jinja ku Lwomukaaga,” Wokorach bw’ategeezezza.

Walukuba, abakyali abagole mu liigi be bokka abaawanguliddwa ku butaka mu muzannyo ogwabadde ogwa vvaawompitewo era okukkakkana ng’abagenyi baguwangulidde ku njawulo ya bugoba bubiri.

Mu bakyala, Thunderbirds ekukelembedde, obubonero yafunye bwa ku mukeeka Avengers bw’etaalabiseeko sso nga Black Pirates yatimpudde Ewes e Bweyogerere ku bugoba 20-0.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *