Ttiimu z’okubaka zeesunga mpaka za buvanjuba bwa Afrika.

0

Kiraabu za Uganda ez’okubaka musanvu ze zinaakiikirira eggwanga mu mpaka z’okubaka ez’obuvanjuba bwa Afrika eza East Africa Netball Championships ez’okubeera mu kibuga Nairobi ekya Kenya wakati wa May 13-20.

Ku ttiimu ezigenda kuliko ez’abakazi nnya n’ez’abasajja ssatu nga bakyampiyoni b’omwaka oguwedde aba NIC balwana kulaba nga beddiza kikopo kino kino omulundi ogwokubiri ogw’omuddiring’anwa.

Makindye Weyonje yaakukiika mu mpaka zino omulundi ogusookedde ddala era omutendesi waayo Jesse Asiimwe agamba ttiimu ye yaakufuna obumanyirivu obw’enjawulo okuva mu mpaka zino.

“Mmanyi nti ttiimu yange eri mu mbeera nnungi okussaawo okuvuganya okw’amaanyu era mmanyi tujja kuba emu ku ttiimu ezinaamalira mu bifo ebisatu ebisooka,” Asiimwe bwe yategezezza.

Empaka zino zaasemba kutegekebwa Uganda mu kisaawe e Kamwokya nga NIC ye yaziwangula, KCCA yamalira mu kyakubiri ate Prisons kyakusatu. Mu basajja, Kampala University yaziwangula ate WOB mu kyakubiri. Ttiimu ezigenda kuliko;NIC, KCCA, Prisons ne Makindye Weyonje ate mu z’abasajja, WOB, Kampala University ne Red Star ze zigenda okuzannya

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *