Kapiteeni wa UCU Lady Cardinals abadde ku buvune aba Kawempe Moslem bamwaniriza.

0

Oluvannyuma lw’emyezi 7 Shadia Nankya kapiteeni wa UCU Lady Cardinals mu liigi y’omupiira gw’abakazi ey’oku ntikko nga tazannya olw’obuvune bw’evviivi, leero Kawempe Moslem emwanirizza na bukambwe.

Leero (Lwamukaaga) ekitundu ekyokubiri ekya liigi y’abakazi (FUFA Women Super League) bwe kigiddwaako akawuuwo n’emipiira ebiri; Kawempe Moslem ekubye UCU Lady Cardinals (1-0) ku kisaawe e Kawempe ate Lady Doves ekubiddwa Olila High School (1-0).

Nankya eyafuna obuvune mu June 2022 bwe yali ku Crested Cranes (ttiimu y’eggwanga enkulu ey’omupiira gw’abakazi) era ng’alondeddwa okugikulembera nga kapiteeni waayo nga yeetegekera empaka za 2022 CECAFA Senior Women Championship ezaali ku FUFA Technical Center e Njeru.

Ono wadde teyazannya ekikopo kino, Uganda yakiwangula omulundi ogwasookera ddala mu myaka 7 bukya batandika kukyetabamu mu 2016. Baakuba Burundi (3-1) ku fayinolo, Sandra Nabweteme yateebako bbiri ne Fazilah Ikwaput.

“Tukoze buli ekisoboka naye omukisa gw’obuwanguzi tegubadde ku ludda lw’affe wabula ndi musanyufu nti nkomyewo okuzannyira ttiimu yange era saagala abazannyi beekubagize nti batukubye, tugenda kuwangula egiddako,” Nankya bwe yategeezezza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *