Express ettunka ne Kajjansi mu gwa Uganda Cup.

0

Express FC ku bikopo 10 (1985, 1991, 1992, 1994, 1995,1997, 2001, 2002/03, 2006, ne 2007 yenkanankana ne KCCA FC (1979, 1980, 1982, 1984, 1987, 1990, 1993, 2004, 2016-17 ne 2018).

Express eggulawo leero sizoni eno ey’omulundi ogwa 49 ng’ekyalira Kajjansi United FC ku mutendera gwa ttiimu 64, bali ku kisaawe kya Uganda Clays e Kajjansi ng’awangula ye yeeyongerayo ku mutendera gwa ttiimu 32.

James Odoch atendeka Express FC agamba nti kituufu ebyafaayo babikoze mu kikopo kino ekigenda okubawa amaanyi okuzannya nga tebeerekereza naddala ku mupiira guno ogusooka mu sizoni eno.

“Twakoma kuwangula mu 2006/2007, emyaka mingi nnyo egiyise, sizoni eno twagala kulwana kumalawo ennyonta eno, kuba ekya liigi y’eggwanga kikyali kizibu kati tulina kufiira ku Uganda Cup,” Odoch bwe yategeezezza.

Sizoni ewedde Express yawandulwamu SC Villa ku mutendera gwa ttiimu 32, omulundi guno baagala kikopo wabula ne Kajjansi United yeesomye okulaga nti mu ligyoni ebeerayo ttiimu ez’amaanyi.

Arua Hill ye ttiimu ya ‘Super’ endala eri mu nsiike leero ng’ekyalira ttiimu ya Ligyoni, Elite FC ku kisaawe kya Integrated School mu disitulikiti y’e Lira.

Guno gwe mutendera Arua Hill kwe yawandukira sizoni ewedde bwe yakubwa Sizoni ewedde Tipsa FC.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *