Amaku ne Magera balidde ez’omwezi gwa December 2022.

0

Amaku ne Magera balidde ez’omwezi gwa December 2022.Ku mukolo ogw’abadde ku kati kati e Lugogo ku Lwokutaano, Amaku yasitukidde mu kakadde ka ssente okuva mu bategesi ba liigi (Star Times) n’abavujjirizi (Pilsner) ng’omuzannyi wa December eyasinze kw’ossa Magera naye yafunye ssente zeezimu ng’omutendesi eyasinze banne okukola obulungi.

Amaku yamezze Milton Karisa owa Vipers SC ne Laban Tibita owa Busoga United FC. Mu December, yateebye ggoolo ssatu n’ateekawo ppaasi emu eyavaamu ggoolo. Maroons agiwaniridde okwekuumira mu kifo kya 10 n’obubonero 15.

“Eno ebadde emu ku ssaala yange era ebimu ku birooto byange, y’ensonga lwaki mbadde nkola butaweera sizoni eziyise emabega naye mukama anzijjukidde n’addamu essaala yange,” Amaku bwe yategeezezza.

Magera owa Villa, yamezze Alex Musongola Isabirye owa BUL FC ne Morley Byekwaso (KCCA FC). Mu December, Villa yawangula emipiira esatu nga teteebeddwaamu ggoolo yonna.

Yakuba Maroons (1-0), Blacks Power (1-0), UPDF (2-0) n’amaliri ga mulundi gumu (1-1) wakati wa URA. Bali mu kifo kyakutaano n’obubonero 24.

“Tekibeera kyangu okuwangula abatendesi abalala 14 bwe tuli mu liigi ya ‘Super’, guno omukisa munene bukya ntandika kutendeka mupiira,” Magera bwe yategeezezza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *