BUL FC EKANSIZA OMUSAMBI PAUL SEKULIMA OKUVA MU MBALE HEROES.

0

Paul sekulima afuuse omusambi ow’okuna okugulibwa ttiimu ya bul fc etendekebwa omutendesi alex

isabirye. Ono yaguliddwa okuva mu mbale heroes esambira mu liigi eya rijono ey’obuvanjuba era ngaawereddwa endagaano ya myaka ebiri.

Paul sekulima yasambirako ne ku Buganda mu mpaka za fufa drum ezasooka nga Buganda era

etendekebwa alex isabirye. Kino kitegeeza nti bul fc mu katale kano yakakaansa abasambi bana, nga

sekulima yegasse ku Emmanuel kalyowa eyavudde mu kyetume fc, Joshua okiror eyavuddemu proline

wamu ne Samuel kayongo sekamatte eyavudde mu arua hill sc. Kalyowa ne okiror tebanayanjulwattiimu eno.

Bul fc yakuddamu okusamba nga ekyalira sparks sc mu kirondo e mukono nga 30 omwezi guno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *