Abakungu ba Chelsea bongeddemu amaanyi mu gy’okukansa omuwuwuttanyi Enzo Fernandez 22,okuva mu Benfica.Akatale k’abazannyi mu Bulaaya kaggalawo ekiro kya leero.

Mu kusaba kwe baatutte mu Benfia,aba Chelsea beeyamye okusasula obukadde bwa pawundi 106 obuli mu kawaayiro k’endagano Enzo gy’alina ne Benfica wabula baakuziwaayo mu bitundutundu.

Chelsea,baasooka kugigobya obukadde bwa pawundi 75 bwe yatwla omwezi oguwedde.Ku Ssande nga baakagula Malo Gusto okuva mu Lyon ku bukadde 26.3,baasindise ekibinja ky’abakungu mu Portugal  beegayirire Benfica abguzae Enzo,enzalwa y’e Argentina.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *